Amawulire

Ebigezo bya P7 bikubye koodi

Ebigezo bya P7 bikubye koodi

Ivan Ssenabulya

March 22nd, 2021

No comments

Bya Damalir Mukhaye

Ekitongole kyebigezo mu gwanga, Uganda National Examinations Board kitegezezza nti entekateeka ziwedde, era bazijeeko engalo okutuuza ebigezo ebyakamalirizo ebya P7 ebyomwaka oguwedde 2021.

Okusinziira ku mwogezi w’ekitongole kyebigezo ekya UNEB, Jenipher Kalule ebigezo bigenda kutandika ku Lwokutaano lwa wiiki ejja nga 26 March ne Briefing oba okulambika abayizi ku mateeka okuli byebatekeddwa okukola nebyebatekeddwa okwewala.

Kyo ekigezo ekisooka kya Bbalaza nga 30 March songa bakufundikira enkeera waalwo, nga 31 2021.

UNEB eranagiridde n’okulaliika nti tebasubira kusomesa kugenda mu maaso, ku masomero awalai ebifo ebigezo webigenda okukolerwa.

Okusinziira ku Kalule, abayizi emitwalo 74 mu 9,811 bebewandiisa okukola PLE owa 2020, ngebigezo bino bigenda kukolebwa mu bifo omutwalo 1 mu 4,300.