Amawulire

Ebigezo bitandise bulungi

Ali Mivule

November 2nd, 2015

No comments

Ebigezo bya P7 ebyakamalirizo bitandise bulungi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Ku ssomero lya Nakasero Primary wabula bakereyemu essaawa namaba nga batandise ku ssaawa 4 mu kifo ky’essaawa 3 olw’empapula okusookam obutamala.

Era ne  mu district ey’e Mpigi waliyo ebifo awatuulibwa ebifunye omuwendo gw’ebigezo ebitamala bw’ogeraageranya n’abayizi ab’ewandiisa okutuula ebigezo bino.

Ku ssomero lya Nkozi Nusrat primary school, amasomero asatu geegatuulira mu kifo kino, kyokka ebigezo baleese by’amasomero abiri era abaana 17, okutuula ebigezo, bookesezzaamu bw’okeesa ekigezo ky’okubala.

E Nabusanke C/U primary school negyebuli kati bakyalongoosa webagenda kutuulira bigezo babadde tebeetegekanga.

Omulamuzi w’amasomero mu district ey’e Mpigi, Charles Olinga ategeezezza radio eno nti ebifo ebituulirwamu ebigezo byeyongedde mu kitundu kino nga bino bivudde ku 69 nebidda ku 73. Ebyongeddwamu kuliko; Lubanga P/S e Nkozi, St. Francis – Musa ne Kammengo Grammar P/S wamu ne Buwama Modern P/S.

Olinga agambye nti kino kikoleddwa okukendeeza ku ngendo ezibadde zitambulwa abayizi nga banonya ebifo webanaatuulira ebigezo byabwe.

Abayizi 5,959 beebeewandiisa okutuula ebigezo mu district ey’e Mpigi ate 3,250 beebewandiisa okutuulira mu district ey’e Butambala.

4 bafisse batyandika ssawa 4 e nakasero