Amawulire

E Wakiso Lwanga awandiisiddwa

Ali Mivule

November 18th, 2015

No comments

E Wakiso abantu 3 bebakasunsulwa okwesimbawo ku bwa ssentebe bwa disitulikiti eno.

 

Bano kuliko ssentebe era munna DP  Matia Lwanga Bwanika, munna FDC Umar Kyeyune n’owa NRM  Jonah Nsubuga.

Bwanika asunsuddwa olwaleero era n’asuubiza okwongera amaanyi mu kukulakulanya ebyenguudo n’ebyobulamu mu kitundu.

 

Bwanika asabye abavubuka okwewala okukozesebwa bannakigwanyizi wabula bekolerele okulwanyisa obwavu.

 

Bwanika awerekeddwako eyali ssenkaggale w’ekibiina kya DP  Paul Kawanga Semwogerere akkatirizza amakulu g’okubeera n’akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde.

 

Ssemo on EC eng/lug

Mungeri yeemu akulira eby’okulonda e Wakiso Hjat Sarah Bukirwa ategezezza nga bwebagenda okusunsula ba meeya be Nansana, Entebbe ne Municipaali mu Makindye ssabagabo.

 

Agamba enteekateeka eno yakugendera ddala mu maaso okutuusa olunaku olwokutaano nga kampeyini zitandika ku Mande ejja.