Amawulire

E Kyambogo, nnaku musanvu tebasoma

Ali Mivule

November 4th, 2013

No comments

Kyambogo

Kati ennaku 7 be ddu nga ettendekero lye Kyambogo liggale.

Olwaleero abakulira ettendekero lino poliisi ne prof . Ndiege Omolo nga ono abasomesa bamusindikiriza okuva ku ttendekero lino basuubirwa okwetaba mu lukiiko  bateese okulaba ng’abayizi baddamu okusoma.

Bano basooka kusisinkana lwa mukaaga kyokka nebatabaako webatuuka nga y’ensonga lwaki bazzeemu okutuula leero.

Omu ku basomesa  Daniel Kigenyi agamba nti kyebagaala kiri kimu Ndiege butadda ku bwa amyuka ssenkulu w’ettendekero   era tebakkiririza mu bya kkooti kubanga tebawabangako.

Prof Ndiege yadda ku ttendekero lino wakati mu mizira okuva eri abayizi oluvanyuma lwa kooti ye Nakawa okuwa ekiragiro addizibwe ku bwa amyuka ssenkulu oluvanyuma lwokusindikibwa mu luwumula olukake.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *