Amawulire

Dereeva wa ki loole kye Namungoona ali Luzira

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

Namungoona fire

Dereeva wa ki loole ekyakwata omuliro abantu abasoba mu 40 bamale bafe asindikiddwa ku meere e Luzira

Ricard Mugisha aguddwaako emisaago 51 egy’okukosa abantu n’ettemu n’omulala gumu gwa butewaaba ng’akoze akabenje.

Omusajja ono teyegaanye musango gwa butaloopa ku poliisi kyokka ng’ebyokutta abantu abyegaanye bw’abadde mu maaso g’omulamuzi  Boniface Wamala owa kkooti ye Nabweru

Kigambibwa nti Mugisha ng’ennaku z’omwezi 29 mu mwezi ogw’omukaaga yavaako okufa kw’abantu 51 ekimotoka kyeyali avuga bwekyateta

Wakuddizibwa mu kooti olunaku lw’enkya ng’asaba okweyimirirwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *