Amawulire

Buganda ssi yakugoba bantu

Ali Mivule

April 16th, 2014

No comments

KATIKKIRO AGAIN

Obwakabaka bwa Buganda ssibwakugoba musenze yenna ku ttaka bwalyo obwalidiziddwa gavumenti eyawakati.

Oluvanyuma lw’okukwasa obwakabaka ebyapa by’ettaka erimu kwelyo elyali liwambiddwa mu gyenkaaga, omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yasabye obwakabaka obutagoba basenze bano ku ttaka lino wabula bateese engeri y’okulikulakulanyamu.

Omwogezi w’olukiiko olutwala eby’ettaka mu bwakabaka bwa Buganda Abby Ntambi agamba obwakabaka tebulina kigendererwa kyonna kyakugoba Muntu yenna ku ttaka.

Wabula agamba nti abasenze bonna bakolagane bulungi n’obwakabaka bwekitatuuka okwewandiisa n’okusasula obusuulu.