Amawulire

Buganda egobye owe’gombolola abadde mu mvuyo gy’ettaka

Ivan Ssenabulya

April 20th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omwami wa Kabaka owe’gomboloola ya Kasawo Mituuba VI ayimiriziddwa mbagirawo oluvanyuma lwokunokolyawo mu mivuyo gye’ttaka.

Tamale Moses Kawombe kigambibw anti abaddenga yekobaana nabanu abakyamu, okutunda ettaka lya Ssabasajja mu gombolola eno.

Ebbaluwa emuwumuza yavudde wa Ssaabawolereza wobwakabaka bwa Buganda, era minisita wa gavumenti eze’bitundu Christopher Bwanika, nga bamusikizza Haji Sulaimani Teefe.

Wabula Tamale Moses Kawombe alaze obutali bumativu kungeri gyayimiriziddwamu, awatabadde kumuwa mukisa kwewozaako.

Wabula omwami wa Kabaka owe’essaza Kyaggwe Elijah Bogere Lubanga akakasizza ekyakoleddwa okumuwumuza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *