Amawulire

Bobi Wine yeyasinga okubba akalulu-Museveni

Bobi Wine yeyasinga okubba akalulu-Museveni

Ivan Ssenabulya

March 15th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni ayongedde okwenyonyolako, nategeeza nti tebanamugema kirwadde kya ssenyiga omukambwe COVID-19.

Uganda gyebuvuddeko yafuna eddagala doozi emitwalo 96 mu 4,000 erya Astra Zeneca era okugema kwatandika wiiki ewedde.

Okugema kuno kwatandikidde mu basawo, oluvanyuma lwokutongoebwa.

Wabula wabaddewo amwulire agayitingana nti Museveni nabantu be abamwetolodde babagema dda, nga bakozesa eddagala erye gwanga lya China, wabula eritakakasibwanga ekitongole kya WHO.

Wabula bwabadde ayogerako eri egwanga nate, akawungeezi akayise Museveni agambye nti tebamugemangako kabeere mukazi we.

Agambye nti akyali mu mwegendereza kubanga waliwo eddagala lingi erivumbuddwa erigema, kalenga akyanoonya liriwa eddungi lyanakozesa.

Wano era azeemu nayambalira Daily Monitor, balumiriza okuwandiika obulimba.

Wabula Monitor yawandiika nti abantu abomunda abetolodde Museveni bebagemebwa.

Mungeri yeemu Museveni, akiriza nti okulonda kwa bonna okwaliwo nga 14 January kwalimu okubba.

Wabula naye alumirizza nti Kygulanyi yeyasinga okubba akalulu.