Amawulire

Bobi afulumizza olukalala lwabawagizi be 243 abakwatibwa

Bobi afulumizza olukalala lwabawagizi be 243 abakwatibwa

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Akulembeze ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aliko olukalala lwabantu 243 namannya gaabwe, abawagizi be abazze bakwatibwa abebyokwerinda.

Kino kyadiridde omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni mu kwogera ku lunnaku Lw’omukaaga okukiriza nti alina kyamanyi ku bantu abazze bakwatibwa, wabula yawakanyizza amawulire agalaga nti kiwamba bantu.

Yagambye nti ekiwamba bantu tekiyinza kuberawo ku mulembe guno, ogwa NRM.

Pulezidenti Museveni yagambye nti abantu 177 abamu ku bazze bakwatibwa, bayimbulwa ngabantu 65 bebakyagaliddwa, banonyerezebwako ku misango egyenjawulo.

Wabula Kyagulanyi olukalala lwafulumizza okuyita ku mikutu gye muyunga bantu okuli twitter ne Facebook, agambye nti aboluganda lwabwe bakyabanoonya tebabamnyiiko mayitire, era bali mu maziga.

Awakanyizza nokujungulula, ebyayogeddwa omukulembeze we gwanga, ngagambye nti byabadde byekwaso.

Pulezidenti Museveni yalagidde amannya gabanatu bano, bagafulumye, okusobola okukakanya emitima gyabantu