Amawulire

Besigye ku ttaka- Gavumenti eribba mu bugenderevu

Ali Mivule

November 24th, 2015

No comments

Ye akwatidde ekibiina kya FDC bendera Kiiza Besigye asuubizza okukyuusa mu mateeka agafuga eby’ettaka okusobozesa bannayuganda bonna okumanya ebikwata ku ttaka lyabwe naddala erye byapa.

Bino Besigye abyogedde akuba kampeyini e Kayunga n’ategeeza nga ekibba ttaka ekigenda mu maaso bwekigendereddwamu okwavuwaza bannayuganda.

Ono agambye nti gavumenti yandibadde essa ekkomo ku kugaba ebyapa okutuuka ng’ebizibu byonna biwedde