Amawulire

Batambuze awabudde bannamawulire ku butonde

Batambuze awabudde bannamawulire ku butonde

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Meeya wa munisipaali ye Jinja Majid Batambuze asabye banamawulire okukozesa omukisa gwebalina nemikutu gyabwe okukuuma obutonde bwensi.

Bwabadde awayaamu ne banamwulire mu nsisinkano eyalubiridde okutumbula entekateeka zokukuuma obutonde bwensi eyategekeddwa essomero lya Horizon International School, Batambuze agambye nti okukuuma obutonde kikuu nnyo, nga banamauwlire betaaga okukitekamu amaanyi.

Asiimye entekateeka eyakoleddwa essomero lino na kawefube wokusimba emiti gwebatandise, ngamba nti abantu bonna lino lye kkubo lyebasaanye okukwata.

Batambuze era agambye nti bino banamwulire byebagwana okuutekamu amaanyi okubiraga ensi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *