Amawulire

Bataano bebakwatiddwa e Bugiri

Bataano bebakwatiddwa e Bugiri

Ivan Ssenabulya

July 20th, 2018

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Abantu 5 bebaklwatiddwa poliisi mu district ye Bugiri olwokwenyigira mu kutabangula campaign zomubaka wa amunispaali ye Bugiri.

Abakate kigambibwa nti babadde balwanagana ne poliisi mu lukungaana alwa munna JEEMA Asuman Basalirwa nokulumya abantu.

Bano kuliko Safu Musobya, Kassim Waiswa, Paul Kakome, Hassan Mulosita ne Hamada Nkwanga.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi ategezezza nti bakyagenda mu maaso nokunonyereza ku misango gyabwe.