Amawulire

Bashir bamututte mu kkomera

Bashir bamututte mu kkomera

Ivan Ssenabulya

April 17th, 2019

No comments

Bya Musasai waffe

Amawulire agafubutuka mu gwanga lya Sudan galaze, ng’eyali omukulembeze we gwanga lino, Omar al-Bashir batwaliddwa mu kkomera lye Kobar erisangibwa mu kibuga ekikulu Khartoum.

Okusinziiraku mukutu gwamwulire ogwa Reuter’s, ono baamututte mu kkomera lino, olunnaku lwe ggulo, waddenga ate abamu bakyagatankana nti akyali mu mikono gyamagye mu kifo ekyekusifu.

Abamu aba famile bagambye nti omuntu wabwe Bashir, akyali munda mu lubiri lwobwa presidenti, era awatuidde ekitebbe kya  ministry yebyokwerinda.

Wiiki ewedde amagye gaawamba gavumenti ya Bashir, nebamugalira oluvanyuma lwabantu babulijjo okulemera ku nguudo okuva mu Decemba ku nkomerero yomwaka oguwedde.

Bbo abanatu baabulijjo wetwogerera bakyalemedde ku nguudo babanja, gavumenti eyabanatu babaulijjo etali yabanamagye.

Mungeri yeemu ekibinja kyabanamagye mu gavumenti eyekiseera basisisnakanye ssenkulu w’omukago gwa African Union, ku kitebbe mu kibuga Addis Ababa mu gwanga lya Ethiopia.

Bano okusisinkana Moussa Faki Mahamat kidiridde akakiiko akatabaganya era ak’emirembe mu AU okuwa banamagye ennaku 15 zokka okukyusa obuyinza okudda mu mikono gyabanatu.

Bano baalagiddwa baleke abantu bekulembere, oba ssi ekyo baakugobwa mu mukago.

Banamagye abakulembeddwamu Lt-Gen Jalal al-Sheikh baliko ekiwadiiko kyebasomedde Mahamat okuva ewomukulembeze waabwe Lt-Gen Abdel Fattah Abdelrahman.