Amawulire

Bannyini masomero ga Nasale bekubidde enduulu ewa Sipiika

Bannyini masomero ga Nasale bekubidde enduulu ewa Sipiika

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye ne Ivan Ssenabulya,

Ekibiina omwegatira abasomesa abaana abato ki Early Childhood Development Association kidukidde ewa sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga nga bemulugunya kukya gavt okuggala amasomero ga nasale.

Pulezidenti wekibiina kino, Manuela Mulondo, agambye nti okunonyereza kulaga nti akawuka ka corona tekatambuliranyo mu baana abato kati ngokubaggala kyakubalumya bulumya.

Mu kubanukula Kadaga asuubiza okwanja ensonga eno mu palamenti ayite abagivunanyizibwako babeeko bye bogera

Ate Mukono, amasomero agasinga gandiremererwa okuggulawo.

Abayizi bagenda kuddamu okusoma wiiki ejja nga 1 March, wabula absinga batubuliidde nti tebetegse kimala.

Akulira eby’enjigirizza e Mukono Rashid Kikomeko, agambye nti balambudde amassomero nebakizuula nti abasing ebibiina tebibamala, olwokwewa amabanga okutekeddwa okuberawo.

Kikomeko ategeezezza ngamasomero agasinga bwegasabye basomeseze abayizi mu bisulo wabulanga kikyaliko okusomozebwa.

Yye amyuka omubaka wa gavumenti Richard Bwabye asabye abazadde okuwa abaana ebikozesebwa ebibamala.