Amawulire

Banamagye balayidde batandike okukulembera Sudan

Banamagye balayidde batandike okukulembera Sudan

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2019

No comments

Bya Ivan Senabulya

Abadde minister webyokwerinda mu gwanga lya Sudan Lt Gen Awad Ibn Auf, amakya ga leero okukulembera gavumenti yabanamagye eyawambye.

Gvumenti eno egenda kubeera mu mitambo okumala ebbanga lya myaka 2, olwo baasubizza nt baakyuse obuyinza okudda mu mikono gyabantu.

Kino kyadiridde bano okuwamba gavumenti ya presidenti Omar al-Bashir.

Lt Gen Awad Ibn Auf era akakasizza nga bwebatagenda kutwala abadde omukulembeze we gwanga, Omar al-Bashir mu kooti eyensi yonna.

Agambye nti bagenda kumwevunanira mu kooti ez’omunda mu gwanga.

Bashir kinajjuirwa nti yayisibwako ekibaluwa ki bakuntumye mu ICC, olwemisango gyekitta bantu mu Dafur, okuwakula entalo nemirala.

Wabula bbo abantu bakyali ku nguudo, nga bawkanaya gavumenti eno gyebagamba nti abjirimu, babaddenga nnyo ku lusegere, era mu gavumenti ya Omar al Bashir.

Kati bwebabadde bogera ne banamwulire mu lukungaana olukyagenda mu maaso, omu ku bali ku kakiiko kabanamgye, Lt-Gen Omar Zain al-Abidin, agumizza abantu nti bagala kukakasa mirembe nt egwanga litebenkere.

Agambye nti ebizibu bye gwanga ebyebyobukulembeze, ebyenfuna nebiralala, byonna, abantu babulijjo abakyalemedde ku nguudo bebajja okubyemalira, bbo bakuuma mirembe.

Agambye nti bagenda kuberawo akabanga katono, era oluvanyuma abantu babulijjo bakuweebwa obuyinza okwekulembera.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *