Amawulire

Banakyewa boogedde ku kusobya ku baana, okweyongedde

Banakyewa boogedde ku kusobya ku baana, okweyongedde

Ivan Ssenabulya

April 20th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ebibiina byobwanakyewa ebitakabanira eddembe lyabaana, byogedde ku kweyongera kw’emisango egyokukabasanya abaana.

Kati abazadde nabatuuze mu bitundu basabiddwa, nti babeera ku mwanjo nnyo okukuuma abaana nokulwanirirra eddember lyabwe.

Omulanga guno gukubiddwa Yvonne Laruni, akulira ebyemirimu mukitongole kya Raising Voices.

Kino kyadiridde alipoota ya poliisi ekwata ku bumenyi bwamateeka, okulaga nti wabaddewo okweyongera, mu misango ngyokusobya ku baana.

Alipoota eraga nti wabaddewo okweyongera kwa 3.8%, ng’emisango omutwalo 1 mu 4,134 gyebafuna mu 2020 songa mu 2019 baafuna emisango omutwalo 1 mu 3,613.

Ku misango gino, omutwalo 1 mu 4,080 baali baana mu myaka emito atenga emisango 140 baali baana balenzi, songa n’emisango 10 gyali gyakusobya ku bakazi abakulu.

Laruni agambye nti kimalamu amaanyi okulaba ngabaana bakabasanyizbwa, wabulanga buvunayizbwa bwa bulimuntu okukuuma abaana.