Amawulire

Banadiini basabye babakirize okuleeta eddagala lya COVID-19

Banadiini basabye babakirize okuleeta eddagala lya COVID-19

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Badaniini basabye omukulembeze we’gwanga okubakiriza bakwatagane nemikwano gyabwe meitala wamayanja, okuleeta kuno obuyambi naddala eddagala erigema ssenyiga omukambwe COVID-19.

Omulanga guno gukubiddwa Omutume Joseph Sserwadda, akulira ekibiina ekigatta amakanisa gabalaokole wansi wa Born Again Faith Federation.

Ono abadde mu kusaba kwegwanga okwomulundi ogwokuna Mukama ataase, egwanga ku kirwadde kya ssenyoiga omukambwe okusinzdde ku mitimbagano okuva mu maka gobwa pulezidenti Entebbe.

Okusaba kuno era kwetabiddwamu nebanadiini mu masinzizo amalala 6.

Serwadda era asabye omukulembeze we’gwanga aokubawa minisitule yenzikiriza eyetongodde, okusobola okuteeka katonda ku mwanjo mu byobukulembeze bwa Uganda.

Mu biralala asaby nti banadiini batekebwe ku lukalala lwabawereza abatayinza kukugirwa muggalo oba essential workers.