Amawulire

Balifiri bannauganda 4 balondebwa okufuuwa ogwa CAF

Balifiri bannauganda 4 balondebwa okufuuwa ogwa CAF

Ivan Ssenabulya

February 3rd, 2021

No comments

File Photo: Drogba nga saaba omupiira

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF kironze abakomonsi ba firimbi 4 bannayuganda okulamula omupiira gw’empaka za CAF Confederations Cup oluzannya olw’okubiri olwa preliminary round.

Omupiira guno gwakubeerawo nga 14 omwezi guno mu kisaawe kya Nyayo stadium e Nairobi wakati wa club ya Gor Mahia eya Kenya nga ettunka ne Napsa Stars eya Zambia.

Abalondedwa ye William Oloya agenda okubeera mu kisaawe wakati, nga wakuyambibwako abawuubi b’ebitambala Okello Lee ne Masembe Isa ate nga fourth official ye Ali Sabila Chelenget.

Abakungu abalala okuli Ali Mwebe ne Mandu Watenga balondedwa ku buvunanyizibwa obwenjawulo ku mupiira wakati wa club ya Al Merreikh eya Sudan ne AS Vita eya DR Congo mu mpaka za CAF Champions League nga 23 omwezi guno