Amawulire

Babiri bafiiridde mu kabenje e Buwama

Babiri bafiiridde mu kabenje e Buwama

Ivan Ssenabulya

July 28th, 2019

No comments

Bya Mbogo Sadat, Abantu babiri baafiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde mu kitoogo ekimanyiddwanga Kibukuta okumpi n’akabuga k’e Buwama mu district ey’e Mpigi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka mu kiro ekikeesezza olwaleero.

Okusinziira ku police akabenje kano kaaguddewo ku ssaawa nga bbiri oluvannyuma lwa motoka ya buyonjo kika kya Toyota Corolla number UAQ 391M bwe yatomereganye ne Canter number UAY 365T, ng’eno ebadde yeetisse ebikozesebwa mu kuzimba nga eva Kampala edda mu bitundu eby’e Masaka.

Poliisi n’abadduukirize bakozesezza embazzi n’ebyuma ebirala okutemayo emirambo gyombi ejibadde mu Canter nga kuliko ogwa dereva nomukyala.

Mu kabenje kano, kigambibwa abantu bataano beebafunye ebisago era babadde mu motoka entono nga baatwaliddwa mu ddwaliro erya Nkozi okuweebwa obujjanjabi.

Aduumira poliisi e Buwama, afande Albert Natumanya akabanje akatadde ku kuvugisa kimama nga kw’otadde n’endiima.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *