Amawulire

Babasibye emyaka 30 olw’okutta omuyizi omu-Columbia

Babasibye emyaka 30 olw’okutta omuyizi omu-Columbia

Ivan Ssenabulya

July 22nd, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Abasajja 2 basindikiddwa mu kkomera bebakeyo emyaka 30, olwokutta omuyizi munansi wa Colombia Andrew Gatare owemyaka 25.

Oludda oluwaabi lugamba nti ettemu lino lyaliwo, mu kiro kyolusooka mu mwaka gwa 2015.

Omulamuzi wa kooti enkulu Anglin Flavia Senoga yasingisizza abavunanwa Robert Mutebi ne Geoffrey Lubwama emisango gyobutemu nobwa kkondo, nga kigambibwa nti baamutta nebamubbak ne ssimu ye kika kya black-berry, nensimbi enkalu.

Oludda oluwaabi lugamba nti omusango baaguzza nga 31 mu Decemba wa 2014 ku ssaawa nga 11 ne dakiika 55, ku Serena Hotel mu Kampala, ebiriroliro bwebyali bikuba okuyingira omwaka omujja 2015.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *