Amawulire

Baasi ya YY bajikutte lwakuva ku biragiro

Baasi ya YY bajikutte lwakuva ku biragiro

Ivan Ssenabulya

September 18th, 2019

No comments

Bya Yazid Yolisigira

Abasaabaze abali mu 60 basobeddwa poliisi bwekutte bus ya kampuni ya YY Coaches, olwokumenya amateeka g’oku nguudo.

Bus eno ebadde eva Mbale ngoyolkera Kampala, wabula bajikwatidde mu district ye Iganga.

Omudereva wa bus eno namba UAX 276/H, akwatiddwa era nolwobutagoberera biragiro ebyabalambikirwa poliisi gyebuvuddeko oluvanyuma lwobubenje obwomudiringanwa obubaddnga bukolebwa bus zino.

Omuddumizi wa poliisi mu district ye Iganga David Ndaula, agambye nti bus eno yatambudde matumbi budde okuva e Kampala nedda e Mbale songa olwaleero lwebadde etekeddwa okusimbula e Kampala ku ssaawa 9 ezolweggulo, nga kuno kwabadde kumenya biragiro.

Kati abasabaze kizuuse nga babadde balina nakutambulira mu baus ndala, namba UAY 057/V okusinziira ku ticketi zebasazisizza.

Kati abasabaze abamu basazeewo okulinnya taxi, atenga abatalina ssente bakyakonkomalidde ku makubo.