Amawulire

Ba kansala baddukidde wa Kadaga ku bulamu bw’omutanda

Ba kansala baddukidde wa Kadaga ku bulamu bw’omutanda

Ivan Ssenabulya

April 20th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Palamenti egenda kukwatagana nobwakabaka bwa Buganda ku nsonga zobulamu bwomutanda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebe II.

Kino kyadiridde ba kansala abakalondebwa abekibiina kya NUP, okwekubira enduulu ewa sipiika Rebecca Kadaga nga bemulugunya ku mbeera embi, Ssabasajja gyealabikiramu bweyali ku mazalibwa ge, agemyaka 66 wiiki ewedde.

Oluvanyuma Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, yavuddeyo nategeeza nti Omutanda atawanyizibwa alagi.

Wabula ba kansala ku lukiiko lwekibuga, nga bakulembeddwamu owe Nakawa John Mary Ssebufu, asabye palamenti ekitekemu amaanyi nti gavumenti ebeeko obuyambi bweyatuusa eri abakulembeze be’nono.

Mu kwanukula sipiika Rebecca Kadaga asubizza nti wakuwayaamu ne Katikiro Charles Mayiga, ekituufu ku mbeera yobutanda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *