Amawulire

Ba Imam balabuddwa ku kuwoowa abatanetuuka

Ba Imam balabuddwa ku kuwoowa abatanetuuka

Ivan Ssenabulya

August 23rd, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Disitulikiti Khadi w’e Lwengo, Sheikh Ibrahim Ismael Kibuule agugumbudde ba Imam bagamba nti bagufudde muze okuwoowa n’okufumbiza abaana abatanneetuuka.

Abalabudde okubasiba awatali kuttira muntu yenna ku liiso kiyambeko, okulwanyisa omuze guno.

Kino kiddiridde ba Imaam 2 abaakwatibwa nga bawoowa abaana abatanneetuuka mu ggombolola y’e Lwengo nga kati bawerennemba n’emisango.

Omuze guno agambye nti gwongedde neku muwendo gwabaana okuwnadulkanga mu mosmero.