Amawulire

Ba dereeva beediimye

Ali Mivule

July 1st, 2013

No comments

Taxis parked

Ba dereeva ba takisi bakedde kwekalakaasa e Jinja nga bawakanya amateeka g’ebidduka amaggya./

Poliisi eyiiriddwa e Bugenba mu kibuga ky’e Jinja, ba dereeva bano bwe bataamye obugo ne balemessa ebidduka byonna okutambula nga baagala ba dereeva bonna babegatteko mu kwekalakaasa nga bawakanya amateeka gano.

Aduumira poliisi e Jinja Apolo Kateeba, agambye nti tebagenda kukkiriza kwekalakaasa kulimu mivuyo, okugyako okwemirembe.

Beekalakaasa lwa mateeka mappya ge bagamba nti galimu ebibonerezo ebikakali ebitabakkiriza kukola bulungi mirimu gyabwe.

Mu kiseera kye kimu n’e Mbale ba dereeva basitudde enkundi ne batandika okwekalakaasa nga bakuba mmotoka amayinja saako okuziba enguudo.

Nabo bawakanya mateeka ga bidduka amaggya n’ebibonerezo ebyassiddwamu omuli okutanga obutitimbe bw’ensimbi kye bagamba nti kibavuwaza ate ne kiwa abaserikale ba poliisi ekyanya okubanyunyunta nga babakamulamu ensimbi enyingi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *