Amawulire

Amurita akwatiddwa e Nakasongora

Amurita akwatiddwa e Nakasongora

Ivan Ssenabulya

January 2nd, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye ne Prossy Kisakye

Akwatidde ekibiina kya FDC bendera mu kuvuganya kubwa pulezidenti Patrick Amuriat agombedwamu obwala akawungeei ka leero mu disitulikiti yé Nakasongola.

Amuriat abadde agenze kunonya kalulu wabula poliisi ne mu kugira okuyingira ekibuga kyé Nakasongola.

Ono asazeewo kuva mu motokaye natambuza ebigere okuyingira e kibuga kino wabula poliisi ne munyweza

Amuriat gye buvudeko yavumirira gavt okumala ensimbi ngegula tiya gaasi ate nakozesebwa bubi nyo ku bintu ebitetagisa

Ate ye akwatidde Democratic Party bendera kuntebbe yobwa pulezidenti Norbert Mao, akubiriza abalonzi okwekuuma ekirwadde kya covid-19 kuba wekiri era kitta

Bino abyogedde ayogerako eri abalunyanja mu disitulikiti yé Kitagwenda gyabadde mu kuwenja akalulu.

Mao awadde amagezi abawagizi okwewala bannabyabufuzi abatafayo ku kyokukuuma obulamu bwabwe nga ne bwebakungana kirindi tebabakomako songa ekirwadde wekiri

Mungeri yemu asabye abantu be Kitagwenda okulonda enkyukakyuka bwebaba bakulaba ku mirembe egyadala nobwenkanya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *