Amawulire

Amuriat Akwatiddwa e Kasese

Amuriat Akwatiddwa e Kasese

Ivan Ssenabulya

January 5th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Akulembera ekibiina kya FDC era akikwatidde bendera ku bukulembeze bwe gwanga Patrick Amuriat akwatiddwa poliisi, bwabadde ayolekera distulikiti ye Kasese.

Kasese yeemu ku distulikiti nebibuga, akakiiko kebyokulonda gyekayimiriza enkungaana zebyobufuzi, olwekirwadde kya ssenyiga omukambwe COVID-19.

Amuriat yabadde yalalise okugenda e Kasese, ngagamba balina obuwagizi bwamanyi nga FDC mu kitundu kino, songa olunnaku lwe ggulo yabadde agenze ne Kabale mungeri era eyobujeemu.

Kati bwabadde ayolekera e Kasese, Amuriat poliisi emukwatidde ku kumiro lyebisolo erya Queen Elizabeth park nebamulagira ayongire kabangali ya poliisi ebadde emulindiridde, olwokujemera ebiragiro ebiri mu mateeka.

Amuriat asoose naguguba, okuyingira mu mmotoka ekibagudde abasirikale nebamuyingiza mu mmotoka mu mpaka.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *