Amawulire

America eyagala okulonda kwa pulezidenti kunonyerezebweko

America eyagala okulonda kwa pulezidenti kunonyerezebweko

Ivan Ssenabulya

January 18th, 2021

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Eggwanga lya America lyagala wabeewo okunonyereza mu kalulu ke Uganda akobwa pulezidenti akakagwa.

Omwogezi wa US State department Morgan Ortagus agabye nti nti yadde nga waliwo okutiisatiisa nokutya, abalonzi bbo balonda

Ono agamba nti kyenyamiza okulaba nti waliwo ekya bakuuma ddebe okweyingiza mu byobufuzi ngo okulonda tekunabaawo songa ne mivuyo mu kulonda kuno gyali ntoko

Kati wano wasabidde wabeewo okunonyereza ku byonna ebyaliwo mu kalulu kano, ababivunanyizibwako bakangavulwe.

Ortagus era avumiridde ebikolwa ebyokutyoboola eddembe lyabo abavuganya

Oluvanyuma lwokulangirirwa ku buwanguzi Yoweri Museveni yategeeza nga okulonda kwoulundi guno bwekutalimu kubba kalulu