Amawulire

Ambuleensi tezitukanye na mutindo

Ambuleensi tezitukanye na mutindo

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Abakugu mu byobulamu, nabakungu okuva mu minisitule yebyobulamu balaze okutya ku muwendo gwemmotoka kika kya Agafa-e-Mulago ezigulibwa ababaka ba palamenti ne banabyabufuzi wabula nga teziri ku mutindo.

Kigambibwa nti ambulance nnyingi tezirina bikozesebwa okutaasa obulamu, mu kiseera ekyokutambuza omulwadde okumutuusa mu ddwaliro.

Zino abamu bagamba nti mmotoka ngezabulijjo, okujjako kyezirina bwebugombe obugenda bulekanira mu makubo.

Tom Kyobe, pulezidenti owa Association of Ambulances professionals, ekibiina ekigatta abakugu abakola muzi ambulance agambye nti bazudde ngezisinga tezitukanye na mutindo.

Agambye nti ezisinga ziri ku mutendera gwa Class A songa gavumenti yalambika nti wakiri ambulance etekeddwa okubeera nebyetaago ebisokerwako, ku mutendera gwa Class B.

Minisitule yebyobulamu mu mwaka gwa 2018, yabaga enkola etelkeddwa okugobererwa eri obuwerez bwazi ambulance, wbaulanga balindiridde palamenti okujiyisa.

Ebibalo biraga nti mu Uganda mulimu zzi ambulance 440.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *