Amawulire

Ab’embeera y’obudde balabudde

Ab’embeera y’obudde balabudde

Ivan Ssenabulya

October 27th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Ekitongole ekivunanyizibwa ku ntebereza y’embeera y’obudde ki Uganda National Meteorological Authority kirabudde kunnamutikwa w’enkuba esuubirwa okutonya ng’erimu n’okubwatuka okumala ennaku taano.

Okulabula kuno wekugidde ng’ebitundu b’eggwanga ebyenjawulo bifuna enkuba ey’amaanyi eresse ng’ebirime n’amayumba g’abantu bisanyizibwawo.

Mu kiwandiiko ekifulumizibwa akolanga senkulu w’ekitongole kino Paul Isabirye agamba nti embeera eno etandika lunaku lw’aleero okutuusa ku lunaku lw’okusatu ssabiiti ejja.

Isabirye agamba nti nnamutikwa w’enkuba egenda okufudemba yakuleeta amataba okusingira ddala mu bibuga, mu bifo eby’omuseetwe, eby’ensozi era nga yakubaamu n’okubwatuka kwegulu.

Abakugu bagamba ebifo ebigenda okusinga okukosebwa mulimu ebitundu bye Kigezi, munsozi ze Rwenzori, ebimu ku bitundu eby’omumasekati naddala ebiriranye enyanja Nalubaale nolusozi Elgon

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *