Amawulire

Amasimu agatatukana na mutindo gakugibwako

Amasimu agatatukana na mutindo gakugibwako

Ivan Ssenabulya

October 24th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Akakiiko akalondoola ebiweerezebwa ku mpeewo mu ggwanga lino kategeezezza nga bwe kali muntekateeka ez’okujaako amasimu gonna agatatukagana n’amutindo okwetoloola eggwanga nga kino kisubirwa okubaawo wakati wemyezi 5-6 egyijja.

Kino kyasanguzidwa akulira akakiiko kano Eng Godfrey Mutabazi mu lukugaana lwa ministry ya techinologiya olwa buli mwaka olutudde wano Mu Kampala.

Mutabaazi ategeezezza nga bannaUganda bangj abawangalira mu byalo bwe balina amasimu amaccupule nga tegakoma kukosa mu mpeereza ye by’empuliziganya wabula n’okuteeka obulamu bwabo mu matiga g’okufuna ebirwadde.

Ono ategeezezza nti oluvanyuma lw’okufuna akuuma akagenda okukola omulimu guno wetunatukira mu bikujjuko bya paasika eby’omwaka ogujja amasimu gonna amaccupule gajjakuba gagyidwako.

Wabula guno si gwemulundiu ogusoose nga akakiiko kano kalangirira entekateeka ez’ekikula kino nga nemumwaka gwa 2012 kyali bwekityo.