Amawulire

Amagye gawambye gavumenti ya Bashir n’ebamuggalira

Amagye gawambye gavumenti ya Bashir n’ebamuggalira

Ivan Ssenabulya

April 11th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa, Stephen Mbidde ne Ivan Ssenabulya

Amagye ge gwanga lya Sudan galangiridde embeera eyakazigizigi, oluvanyuma lwookuwamba gavumenti ya presidenti Omar Al-Bashir.

Bwabadde ayogerera ku TV ye gwanga minisita webyokwerinda Ahmed Ibn Auf ategezezza nga Bashir bwebamukutte, nga kati akumirwa mu kifo ekyekusifu.

Kati watondedwawo akakiiko kabanamagye akagenda okukulembera egwanga okumala ebbanga lya myaka 2, nga tebalanonda gavumenti eyabantu.

Minister ono kenyini aygenda okukulembera gavumenti yabanamagye eyekiseera.

Agambye nti Bashir wakwetondera abantu bonna abafiriddwa abaabwe, mu bwegugungo obubaddewo obwatandika mu Decemba womwaka oguwedde.

Omugatte agambye nti abantu 14 bebakamnyikako nti bafiridde mu bwegugungo mu kibuga ekikulu Khartoum.

Omar Hassan Ahmad al-Bashir owemyaka 75 yazaalibwa nga 1st January 1944.

Yayingira amagye mu 1960, nga kino kino kibadde kisanja kye kya 7. azze awangula okulonda waddenga okulonda kigabibwa nti okulonda tekubaddenga kwa mazima.

Okuyingira ebyobufuzi yawamba gavumenti ya Sadiq al-Mahad mu 1989.

Ebisingawo ku byafaayo bye, byakujira mu mboozi yaffe eyenjawulo olunnaku olwenkya ku ssaawa 2.