Amawulire
Alumiriza paasita Patrick Makumbi obufere bimubijidde
Bya Ruth Andera
Kkooti ye Makindye eyongeddeyo ku alimanda Joseph Mukasa Kato nga ono avunaanibwa kulebula musumba wa kanisa ya Gospel Healing Centre Lweza paasita Bishop Patrick Makumbi nti mufere awedde emirimu era ebyamagero apangabipangirire.
Omulamuzi Allan Gakyaalo ataddewo olwal nga 6 July 2017 okuddamu okuwulira omusago guno era n’alagira Makumbi aggye n’abajulizi be.
Nga 5th June 2017, Mukasa omutuuze we Kalagala mu disitulikiti ye Kiboga yagulwako ogw’okulebula omusumba ono omusango Kato gweyegaana.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Happiness Ainebyona lurumiriza nti wakati wa February ne March 2017 bweyali ayogerako eri emikutu gya leediyo ne Tv, Mukasa yalumiriza nga paasita Makumbi bweyamutundulamu ensigo zomubusajja n’azirya.
Oludda oluwaabi lurumiriza nti kuno kwonoona linya lya musumba kwenyini.
Kato talina bamweyimirira era Omulamuzi naye tabadde mubi n’amuzza ku alimanda okutuusa nga 6 July 2017.