Amawulire

Akalulu- poliisi enonyereza ku mabirizi

Akalulu- poliisi enonyereza ku mabirizi

Ali Mivule

November 11th, 2015

No comments

File Photo: Joseph Mabirizi nga jeeyo foomu

File Photo: Joseph Mabirizi nga jeeyo foomu

Poliisi etandise okunonyereza ku bigambibwa nti omu ku besimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga yawambiddwa ekiro kyajjo.

Kiddiridde omukulu ono Joseph Mabirizi okusazaamu kampeyini ze ng’agamba nti yawambiddwa abantu abatannaba kutegerekeka

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti ebigambo bino tebasobola kubitwala nga byalusaago.

Wabula Enanga agamba nti ssinga bakizuula nti ono yabadde alimba, wakuvunaanibwa

Abesimbyeewo abalala bakyayigga kalulu mu bitundu ebitali bimu.

Pulezidenti Museveni asiibye dokolo, Dr Kiiza Besigye ali Kisoro ate Mbabazi Mityana.

Ng’ayogerako eri abantu, Dr Kiiza Besigye alumbye gavumenti olw’okussa essira ku nguudo enkulu kati eziyingira munda nezifiira ddala.

Bw’abadde ku kisaawe kye Rubuguri e Kisoro Besigye agambye nti gavumenti tekoze kimala kuzimba nguudo naddala ez’omu byaalo.

Ono asonze ku luguudo lwe Kafuuga nga luno lubi ddala era ono avudde mu motoka ye n’atambuza ku bigere

Ono ayimiridde mu bubuga nga Butengo ne Nyanamu nga tannaba kutuuka eno..

Eno abayizi okuva mu siniya ne pulayimale basimbye enkalala ku nguudo okumulabako

Awerekeddwaako akulira ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu, ssentebe w’ekibiina Wasswa Biriggwa ne ssabakunzi w’ekibiina Ingrid Turinawe.

Ate okukuzzaako e Mityana, eyali ssabaminista Amama Mbabazi akunze abantu okumuwagira okuleeta enkyukakyuka.