Amawulire

Akakiiko kalabudde- teli kukunga bantu

Akakiiko kalabudde- teli kukunga bantu

Ali Mivule

October 29th, 2015

No comments

File Photo: Sam Rwakoojo ngali ne Kigundu

File Photo: Sam Rwakoojo ngali ne Kigundu

Akakiiko k’ebyokulonda kawadde abesimbyewo ku bwapulezidenti ebinagobererwa  ebisembayo nga betegekera okusunsulibwa ssabbiiti ejja.

Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa, abesimbyewo 7 bokka  ku mwenda bebalonda essaawa z’okusunsulibwako nga pulezidenti Museveni y’alonda ssaawa 4 ez’okumakya.

Mbabazi wakuddirirwa eyali ssabaminisita Amama Mbaabzi ku ssaawa 5 olwo Prof Vanasuis Baryamureeba aggye ku ssaawa 6 ye  Charles Lwanga asembeyo ku ssaawa 8 ez’emisana.

Ku lunaku olwokubiri  Dr Kiiza Besigye y’ajjja okusooka okusunsulibwa addirirwe  Dr. Abed Bwanika ku ssaawa 6 olwo Joseph Mabirizi asembeyo ku ssaawa 8 e’zemisana.

Nga ayogerako nebannamawulire ,ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu asabye abesimbyewo okukuuma obudde ssaako n’okugondera n’amateeka gokunguudo nga bwegalambikiddwa poliisi.

Kiggundu era alabudde abesimbyewo obutasussa bawagizi 20 nga bagenda okusunsulibwa.

 

Mungeri yeemu ab’ekibiina kya NRM nabo bafulumizza enteekateeka nga ttabamiruka atandika okutuukira ddala ku lukungaana lwebanasooka

Ttabamiruka atandika nkya ng’abalema mu kibiina bakutuula bateese ku nsonga ezibakwatako

Nga 1 ne 2 Olukiiko lwa wamu wakutandika okuteesa ku nsonga ezitali zimu n’okukakasa pulezidenti Museveni ku ky’okukwata bendera.

Nga ssatu, Pulezidenti Msueveni wakuwandiisibwa mu kakiiko akalondesa , akube olukungaana lwe olusooka e Kololo ku lunaku lwelumu

Nga ttaano, ekibiina kyakwanja manifesto yaakyo ate nga Mwenda, NRM yakukuba olukiiko lwaayo e Luweero