Amawulire

Agambibwa okulagajjalira omulwadde avunaaniddwa

Ali Mivule

October 23rd, 2013

No comments

Doctor charged

Omusawo agambibwa okuvaako okufa kw’omukyala w’olubuto avunaaniddwa omusango gwa kutta Muntu mu butanwa.

Christopher Bingi nga musawo mu ddwaliro lya health center 4 e  Mukono abadde mu maaso g’omulamuzi Joy Bahinguzi

Ono ne banne abakyawenjebwa babavunaana kulagajjalira omukyala Florence Nakamya ekyamuviiriddeko okufa.

Oludda oluwaabi lugamba nti nga 19 omwezi guno, omusawo ono yapasula omukyala ono mu ddwaliro lya gavumenti  n’amuzza mu kalwaliro ke gyeyafiira

Wabula yye munnamateeka we Raymond Ssebaggala asabye nti omusawo ono yeeyimirirwe kubanga ddembe lye kyokka ng’omulamuzi abigaanye ng’agamba nti okunonyereza kukyagenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *