Amawulire

Ab’oluganda 3 battinganye e Kyotera

Ab’oluganda 3 battinganye e Kyotera

Ivan Ssenabulya

February 18th, 2021

No comments

Bya Malikh Fahad

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Nakatooke mu gombolola ye Kasasa mu disitulikiti ye Kyotera, ebbiina lyabatuuze bwerikakanye ku musajja George Katukane ne muganda we Kakamu Steven nebabatta nga babalumiriza, nga babalumiriza okutta muganda waabwe Lubero George.

Okunonyereza okusoose kulaga nti Katukane George bamusanze nebimu ku bintu bya muganda we omugenzi okwabadde endaga muntu nessimu, nekiteberezebwa nti okufa kwa Lubero yakulinamu omukono.

Abatuuze okuva mu mbeera kyadirirdde okusanga omulambo gwa Lubero, nga gwasuliddwa okumpi nekiraaro.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu Muhamad Nsubuga, avumiridde ettemu lino, nalabula nabatuuze ku bikolwa ebyokutwalira amateeka mu ngalo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *