Amawulire

Abóludda oluvuganya banditandika okubangulibwa e Kyankwanzi

Abóludda oluvuganya banditandika okubangulibwa e Kyankwanzi

Ivan Ssenabulya

April 28th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Aboludda oluvuganya bandifuna omukisa okugenda mu ttendekero lya NRM erya abakulembeze e kyankwanzi okubangulibwa.

Kino kidiridde ababaka ba NRM abakalondebwa abali mu lusirika e Kyankwanzi okukkiriziganya nabo oludda oluvuganya baweebwe omukisa okugenda okutendekebwa.

Mu kusalawo okukoleddwa omubaka omukyala owa Ngora District, Juliet Acayo, ababaka bategezeza nti kino kyakuyamba abavuganya gavt okusiima entekateeka za gavt mu kifo kyokuzisimbira ekuuli.

Bano era bakanyiza wabeewo okusoma okwobwerere mu ggwanga kiwewule abazadde ku bisale ate na bayizi baweebwe emmere.