Amawulire

Abe’Mulago banyonyodde ku kuvaako kwamazzi

Abe’Mulago banyonyodde ku kuvaako kwamazzi

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2021

No comments

ByaProsy Kisakye

Wakati mu bbula lyamazzi eririwo u gwanga, abeddwaliro ekkulu erye Mulago batandise okukereza amazzi.
Ssenkulu we’ddwaliro lino Dr Byarugaba Baterana agambye nti ssi kituufu nti amazzi gabajiddwako ku ddwaliro, olwebbanja lyekitongole kyamazzi, naye amazzi bakanyizza gasigale mu bifo ebyenkizo wegasinga okwetagisa, kubanga tegamala.
Wabula ekitongole kyamazzi, kizze kisubiza nti ebbula lyamazzi mu Kampala ne disitulikiti ezomulirwano, lyakufuuka luumo, ssinga essundiro lyamazzi erya Mukono-Katosi linaaba lijiddwako engalo.
Lino lijja kuundula nokusunda amazzi liita obukadde 240 buli lunnaku.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *