Amawulire

Abe’mbaawo e Masaka Bawakanyizza Emisolo Emippya

Ivan Ssenabulya

June 18th, 2017

No comments

Bya Malikih Fahad

Abasubuuzi bembaawo mu district ye Masaka bawakanyizza emisolo egyababinikiddwa gyebagamba nti giri waggulu.

District ye Masaka yayongezza ku musolo ogujjibwa ku bintu ebikolebwa mu mbaawo, embaawo saako nemiti nga kino bagamba kyakoledwa okutereeza emirimu gyebyobusubuzi mu mbaawo.

Kati abasubuuzi bembawo wansi wekibiian kyabwe ekya Masaka Timber, Charcoal and Poles Dealers Association balayidde nga bwebatagenda kusasula nsimbi zino nga bekwasa nti tebatukiridwa mu kusooka, bwebabadde bavaayo nomusolo guno.

Ssentebe wabwe Fred Ssasira agamba emisolo gino giri wagulu nnyo

Mu misolo emimpya loole ejudde enkondo ezikozesebwa okusiba enkomera erina okusasula emitwalo 60,000/- nga zakusasulibwanga buli lutiika ate eyenku yakusasula emitwalo 4,5000/- zagamba nti mpitirivu.

Wabula omukungu webibiira mu district ye Masaka Willy Bbaale awakanyizza ebyogerebwa nti ensimbi nyinji nategeza nti zateledwawo okulongossa emirimu mu district.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *