Amawulire

Ab’eddembe ly’obuntu basabye ab’eby’obulamu

Ab’eddembe ly’obuntu basabye ab’eby’obulamu

Ivan Ssenabulya

October 24th, 2019

No comments

Bya Shamimu Nateebwa, Ab’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu ki Human Rights Awareness and Promotion Forum basaba minisitule y’eby’obulamu okusaawo enkola enambulukufu enagobererwa mu kulongoosa abaana bazaalibwa n’ebitundu ebitakwatagana nakikula kya mibiri gyabwe kikendezze ku baana abalongosebwa nga tebanatuuka myaka gyesalirawo.
Mu kwogerako eri bannamawulire mu kutongoza alipoota eyakoledwa okulondoola embeera z’abantu bano ze bawangaliramu ey’omwaka 2019 akulira ekitongole kino Dr Adrian Jjuuko agamba abantu bangi abazaalibwa n’ebitundu ebikontana balongosebwa nga tebeesalidewo ekibakalubirizza okuwangala
kati bagala balongosebwe nga batuusiza emyaka egy’esalirawo.
Omuwendo gw’abantu bano omutuufu tegumanyidwa mu ggwanga olw’ensonga tebatekebwa mu kunonyerezza kw’ekitongole ekibalirira obungi bwa bantu UBOS