Amawulire

Abébyókwerinda beetegefu ku kulayira kwa Museveni

Abébyókwerinda beetegefu ku kulayira kwa Museveni

Ivan Ssenabulya

May 3rd, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Ngésigadde ennaku 8 zokka omukulembeze weggwanga omulonde okulayizibwa ku kisanja ekyomukaaga, poliisi egamba buli kimu kiwedde okulaba nti omukolo guno gugwa mirembe newankubadde wabadewo obubaka obutambula ku mikutu egyomutimbagano nga bulaga nti Tajja kulayira.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu kamapala, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga anyonyodde nti obukiiko bye byokwerinda okwetoloola eggwanga lyonna buli bulindaala okwenganga bannabyabufuzi abagala okukola efujjo oluvanyuma lwokulemererwa okuyitamu mu kalulu akakagwa.

Enanga agamba nti obumu ku bubinja obuli mu kwetegerezebwa kwekuli abagala okuteekera omuliro amasundiro ga mafuta mu ggwanga, nabagala okwokya ebipiira mu nguudo wakati ku lunaku pulezidenti lwalayira.

Pulezidenti Museveni wakulayizibwa nga 12th of May 2021 ku kissawe e Kololo olwo ate afuge banauganda emyaka emirala 5 eginakola omugatte gwa myaka 40 nga yali muntebe.