Amawulire

Abe Rakai bayiseewo

Ali Mivule

November 5th, 2015

No comments

Abobuyinza mu disitulikiti ye Rakai kyaddaaki bakkirizza abanonyi b’obubudamu mu kitundu kino okusenga mu bitundu byebagala.

Ekibinja ky’abantu abasoba mu 100 okuli abaana bayingira disitulikitio eno ku kimotoka kya Fuso nebabatwala mu nkambi ya Sango bay gyebabadde.

Omubaka wa pulezidenti e Rakai Charles Mubiru ategezezza nga bwebatalaba nsonga lwaki bakyabakuumira mu nkambi sso nga tewali tteeka libagaana kwegazanyiza mu birundu birala.

Bano baava ku byalo ebyenjawulo mu disitulikiti ye Nakaseke.

Akulira ekibinja kino Samuel Kaliisa ategezezza nga abantu bano bwebaali abagoberezi b’omusajja eyali yeyita Wilson Bushara nga olwalfa ebenyumbaye nebabagoba ku ttaka kwebaali babeera.