Amawulire

Abe Mpigi basula ku ttale

Abe Mpigi basula ku ttale

Ivan Ssenabulya

August 6th, 2019

No comments

Bya Sadat Mbogo

Abantu abawerako okuva mu maka agasoba mu 40 kati basula ku oluvannyuma lw’okugobaganyizibwa mu bibanja byabwe ku byalo 2 okuli Kyagalanyi ne Kasawo mu ggombolola y’e Buwama mu district y’e Mpigi.

Okusinziira ku kansala omukyala owe Bunjakko ku ggombolola y’e Buwama, Maxencia Kamoga, abantu abakunukkiriza mu 200 basendeddwa abagagga okuli Moses Kazibwe, Omulangira David Mawanda, n’abalala.

Abagagga bano bagamba nti ettaka lino lyabwe.

Kati abamu basula ku ttale n’abamu mu makanisa n’amasomero.

Kati omubaka wekitundu kino mu palamenti John Bosco Lubyayi adduukiridde abantu bano n’ebyokulya ngomuceere, ebijanjaalo n’akawunga ngasubizza okwongera okubayamba.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *