Amawulire

Abé Kayabwe beeralikirivu ku banabwe abawambibwa

Abé Kayabwe beeralikirivu ku banabwe abawambibwa

Ivan Ssenabulya

January 30th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abatuuze okuva mu Town Council y’e Kayabwe mu disitulikiti y’e Mpigi beraliikirivu olw’abatuuze bannaabwe ababuzibwawo entakera olw’ensonga ezitannamanyika.

Bano nga bakulembeddwamu Hassan Kasujja ng’ono avuganya ku kifo kya Meeya wa Kayabwe Town Council era nga talina kibiina.

bategeezezza nti kumpi buli lukya wabaawo omuntu abuzibwawo naye ng’ab’ebyokwerinda tebavangayo kunnyonnyola.

Kasujja agamba abasinze okukwatibwa be bavubuka abawagira abali ku ludda oluvuganya naddala ab’ekibiina ki National Unity platform (NUP) era bangi batiisibwatiisibwa.

Ayongeddeko nti kino kyandiviirako abantu obutaddamu kwetaba mu by’obufuzi olw’embeera eno etali nnungi.