Amawulire

Abazadde bakyasobeddwa ku kyokuzaayo abayizi ku masomero

Abazadde bakyasobeddwa ku kyokuzaayo abayizi ku masomero

Ivan Ssenabulya

May 31st, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Okwogera, kwomukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni ku lunnaku Lwomukaaga kulese abazadde bangi mu kusoberwa, bebabuuza oba kituufu mu kiseera kino okuzaayo abaana babwe ku masomero.

Abamu ku bayizi aba S2, ababadde awaka ngamasomero gaabwe gakozesebwa okugolola ebigezo ebyakamalirizo tebamanyi kiki ekiddako.

Omukulembeze we’gwanga, yategezezza nga bwebagenda okutuula ku lunnaku lwokusatu okusalawo ekiddako oluvanyuma lwemiwendo gyabalwadde ba ssenyiga okweyongera naddala mu masometro.

Eno yembeera erio, wakati mu muyaga ogwokubiri ogwa ssenyiga omukambwe COVID-19.

Sam Owora nga muzadde, agambye nti balina okutya nti bandiba nga bakazaayo abayizi ate masomero negagalwa, nga balina okubakomyawo.

Bino webijidde ngabayizi aba P1 okutuuka ku P3, nabo basubirwa okuddamu okusoma ku Bbalaza wiiki ejja.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *