Amawulire

Abayizi ba S2 mu masomero agagolola ebibuuzo bakusigala waka mpa nga biwedde

Abayizi ba S2 mu masomero agagolola ebibuuzo bakusigala waka mpa nga biwedde

Ivan Ssenabulya

May 6th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Minisitule evunanyizibwa ku byenjigiriza mu ggwanga etangaziza nti abayizi ba S2 mu masomero 40 agali mu kugolola ebigezo bya bayizi si bakutandika kusoma mu ssabiiti ejja.

Olunaku lweggulo minisitule yakoze enkyuka kyuka mu nnaku abayizi ze balina okudirayo ku masomero, abayizi ba S2 abaali abokudayo nga May 31st minisitule yalaze nti bakutandika mu ssabiiti ejja nga May 13th bawumule nga July 24th.

Wabula mu kiwandiiko ekifulumizidwa omuwandiisi wa minisitule eno Alex Kakooza, akakasiza nti abayizi bonna aba S2 abasomera mu masomero agali mu kugolola ebibuuzo bakugira batudde ewaka okutuusa okugolola kuwedde ngennaku zomwezi June 8th

Amasomero agakoseddwa kuliko aga Seeta Schools, St Mary’s College Kisubi, Gayaz High school, Kings College Budo, St Mary’s College Namagunga ne Uganda Martyrs Namugongo kko na malala.

Ate bbo abayizi aba P1 ne P3 bakuda ku masomero nga 7th June

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *