Amawulire

Abayizi abalenzi bakoze bulungi okusinga abawala mu PLE

Abayizi abalenzi bakoze bulungi okusinga abawala mu PLE

Ivan Ssenabulya

July 16th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye

Ebivudde mu bigezo bya bayizi abatuula ekibiina ekyomusanvu omwaka oguwedde bilaze nti abaana abobulenzi bakola bulungi okusinga ku banabwe abawala.

Okusinzira ku ssabawandiisi wa UNEB, Daniel Odongo, abalenzi batono abagudde.

Abalenzi abawera emitwalo 4 mu 4,877 bayitidde mu ddala erisooka songa abawala emitwalo 3 mu 6,987 bebayitidde mu ddaala erisooka.

Abalenzi emitwalo 16 mu 3,973 bbo bayitidde mu ddaala eryokubiri ate abawala emitwalo 17 mu 738 bebayitidde mu ddaala eryokubiri.

Abalenzi emitwalo 6 mu 3,781 bayitidde mu ddala lyakusatu songa abawala emitwalo 8 mu 2,361 bebayitidde mu lyokusatu.

Abalenzi emitwalo 3 mu 394 bagudde ne nkona ne nywa ate abawala emitwalo 4 mu 3,924 bebagudde.

Mu mwaka gwa 2019, abalenzi era bakola bulungi okusinga ku bawala newankubadde abawala bangi abatuula omwaka ogwo okusinga abalenzi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *