Amawulire

Abayizi 4 bebazalidde mu bigezo bya PLE

Abayizi 4 bebazalidde mu bigezo bya PLE

Ivan Ssenabulya

April 1st, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Ekitongole kyebigezo mu gwanga, Uganda National Examination Board bategezezza nti abaana omugatte 4 bebazaliddwa abayizi abadde bakola ebigezo bya P7, ebyakomekerzeddwa olunnakulwe ggulo.

Mu kiwandiiko ekyafulumye okuva mu UNEB, omwogezi wekitongole Jenipher Kalule, yawadde ekifananyi ekyawamu kungeri ebogezo bya PLE gyebyatambuddemu.

Agambye nti waliwo abantu abatonotono abagezezaako okwenyigira mu kukoppa, nabamu abagezezaako okutataganya entekateeka, nga bino byabadde mu disitulikiti ye Nakasongola, Luwero, Mukono ne Kampala.

Kalule agambye nti bano basobodde okubanguyira nebabakwata.

Mu biralala bafunye ensonga zabaana abatasobodde kutuulka bigezo, olwabakulu bamasomero abatabawandiisa, kyokanga babajjako ebisale byokwewandiisa.

Ebigezo bino byatandika ku lunnaku Lwokubiri nga byakulungudde ennaku 2, nebikomekerezebwa olunnaku lwe ggulo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *