Amawulire

Abavunanwa 11 mu musango gwa Maj Kiggundu babajerezza

Abavunanwa 11 mu musango gwa Maj Kiggundu babajerezza

Ivan Ssenabulya

February 26th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Ssabawaabi wa gavumenti Jane Frances Abodo aliko abantu 11 bajeeko emisango gyobutujju, abaali bakwatibwa ku butemu obwakolebwa ku Major Muhammad Kiggundu.

Bano kuliko Abdulaziz Abdushakur Musoke, Sulaiman Wayaba, Bashir Nyangisho, Abdallah Katata Byansi, Sulait Majid Lukwago, Fikil Yusuf Alqaeda Abasi, Abubaker Katende, Lukia Namulondo, Malik Senabulya, Yasin Galiwango Kagwa, Usama Aula Mugozi ne Asuman Musijjo.

Bano babadde bawerennemba na midsango gyakuyambako nokuseesa mu bikolwa ebyobutujju, okubeera ba memba mu kibiina kyabatujju n’emirala.

Ebbaluwa ejjayo emisango ku bantu bano, okuva ewa DPP yaleteddwa mu kooti enkulu ewozesa emisango egya kalintalo, mu maaso gomulamui David Wangututsi nga yayanjudda omuwaabi wa gavumenti Jackline Okwir.

Mu kiseera ekyo, abavunanwa tebabadde mu kooti, wabulanga wano omulamuzi weyasinzidde okulagira bano bayimbulwe okuva mu kkomera e Luzira gyebabadde okuva mu mwaka gwa 2017.

Oludda oluwaabi lubadde lugamba nti bano emisango bajizza wakati wa 2010 ne 2017 nga betaba mu kugula ebyokulwanyisa nenkolagana nabatujju aba Allied Democratic Forces.

Bajiddiza mu disitulikiti ye Kampala, Wakiso, Mukono, Jinja, Iganga, Bugiri, Busia, Tororo, Masaka, Mbarara n’endala.