Amawulire

Abavunanibwa okwagala okutta Gen Katumba bagala kweyimirirwa

Abavunanibwa okwagala okutta Gen Katumba bagala kweyimirirwa

Ivan Ssenabulya

July 7th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti enkulu mu Kampala etaddewo olunaku lwa Bbalaza nga 12 July okuwulirza okusaba kw’abananamteeka ba bavunanibwa mu musango gwobutemu obwali bukoleddwa ku minisita webyentambula Gen Katumba Wamala nga bagala abantu baabwe bayimbulwe, okutuusa kkooti lwenaddamu okutuula.

Abavunaanwa kuliko Nyanzi Yusuf agambibwa nti era yali nemu butemu obwakolebwa ku eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi ne Hussein Ismael Sserubula.

Oludda oluwaabi lugamba nti bano bebakuba mmotoka ya Gen Katumba amasasi nebatta muwala we Brenda Nantongo ne dereva we Sgt Haruna Kayondo, nga bino byaliwo nga 1 June 2021.

Mu kusaba kwebatadde mu kooti bagamba nti babasindika ku alimanda mu kkomera e Kitalya, atenga baali babagalira dda mu bumenyi bwamateeka ennaku 7.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *